Choose Language

Luganda English

facebook  youtube

Choose Language

Luganda English

facebook  youtube

Abaana n’Abavubuka

Abavubuka

Olw’ekirwadde kya Ssenyiga Kolona, ekibiina ky’Abavubuka ekyali kigundidde obulungi kyakendeera ammaanyi. Kati Ekkanisa eri mu kawefube okulaba nti ekibiina kino kiddawo era tunoonya abantu abalina obwagazi mukukola n’abavubuka mu kkanisa bajje batambuze omulimu gwa Mukama guno.

Bwoba nga olina okuyitibwa mu nsonga eno tukwaniriza. Ebirowoozo ku nsonga eno nabyo tubyaniriza.

Image

Ekkanisa y’Abaana

Ekirwadde kya senyiga kolona nga ketinabaawo, abaana baali basukka mu bitundu 30% mu kkanisa eno. Mu biseera by’omuggalo, twagezaako okusomesa abaana ku mutimbagano naye okujjumbira nga kutono. Okujjumbira okutono wamu n’obutakakasa nteekateeka za kuggulawo masinzizo kyalemesa enteekateeka y’okusomeseza ku mutimbagano era nekuyimirizibwa – kino kitegeeza nti abaana baasubwa okusomesebwa okumala emyaka ng’ebiri!

Okuva ku ntandikwa y’omwaka guno ogwa 2022 gavumenti bweyaggulawo amasinzizo, Ekkanisa y’Abaana nayo yaggulawo era ejjumbirwa nnyo. Kisanyusa okulaba akaseko ku matama g’abaana bano nga bazze okuyiga ekigambo kya Mukama wamu n’okusisinkana banaabwe – abazadde abaleeta abaana mwebazibwa era tusaba abatannaba kuzza baana mubaleete bakulire mu Mukama.

Image

Ekkanisa Y’oLuganda

"For where two or three have gathered together in My name, I am there in their midst.”
Matthew 18:20